Add parallel Print Page Options

30 (A)“Naye buli muntu anaakolanga ekibi mu bugenderevu, bw’anaabanga enzaalwa ne bw’anaabeeranga omugwira abeera mu mmwe, omuntu oyo anaabanga avvodde Mukama Katonda, noolwekyo anaagobwanga mu bantu be, ne bamwesalirako ddala. 31 (B)Olwokubanga anaabanga anyoomye ekigambo kya Mukama Katonda, n’amenya etteeka lye, omuntu oyo anaagoberwanga ddala okuva mu bantu be, ne bamwesalirako ddala, era ekibi kye ekyo kinaasigalanga ku mutwe gwe.”

Amenya Etteeka lya Ssabbiiti Anattibwanga

32 (C)Abaana ba Isirayiri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basisinkana omusajja omu ku b’omu kibiina ky’Abayisirayiri eyali atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti.

Read full chapter