Add parallel Print Page Options

Abawala ba Zerofekadi

27 (A)Abawala ba Zerofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, baali ba mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Amannya g’abawala abo nga ge gano: Maala, ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza. Lwali lumu, ne bajja okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’abakulembeze n’ag’ekibiina kyonna, ne bagamba nti, (B)“Kitaffe yafiira mu ddungu. Teyali omu ku bajeemu abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama; naye ye yafa bufi lwa bibi bye, naye teyalekawo baana babulenzi. Lwaki erinnya lya kitaffe mu kika linaabulamu olw’obutazaala mwana wabulenzi? Mutuwe omugabo mu baganda ba kitaffe.”

(C)Musa n’aleeta ensonga zaabwe awali Mukama Katonda. Mukama n’agamba Musa nti, (D)“Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogw’obutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era n’omugabo gwa kitaabwe gubaweebwe.

“Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bw’anaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogw’obusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala. Bw’ataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be. 10 Bw’anaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe. 11 (E)Kitaawe bw’aba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba ow’okumpi mu kika kye, oyo y’anaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’ ”

Yoswa Alondebwa Okusikira Musa

12 (F)Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri. 13 (G)Bw’onoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni, 14 (H)kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ng’omutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi ag’e Meriba mu Kadesi mu ddungu ly’e Zini.

15 Awo Musa n’agamba Mukama Katonda nti, 16 (I)Mukama Katonda w’emyoyo gy’abantu bonna, alonde omusajja okulabirira ekibiina kino, 17 (J)afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.”

18 (K)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo[a], omusseeko omukono gwo. 19 (L)Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe. 20 (M)Mukwase ekitundu ky’obuyinza bwo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri batandike okumugondera. 21 (N)Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.”

22 Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna. 23 Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Footnotes

  1. 27:18 alimu omwoyo obuyinza Katonda bw’awa omuntu okukola n’obumalirivu

Zelophehad’s Daughters(A)

27 The daughters of Zelophehad(B) son of Hepher,(C) the son of Gilead,(D) the son of Makir,(E) the son of Manasseh, belonged to the clans of Manasseh son of Joseph. The names of the daughters were Mahlah, Noah, Hoglah, Milkah and Tirzah. They came forward and stood before Moses,(F) Eleazar the priest, the leaders(G) and the whole assembly at the entrance to the tent of meeting(H) and said, “Our father died in the wilderness.(I) He was not among Korah’s followers, who banded together against the Lord,(J) but he died for his own sin and left no sons.(K) Why should our father’s name disappear from his clan because he had no son? Give us property among our father’s relatives.”

So Moses brought their case(L) before the Lord,(M) and the Lord said to him, “What Zelophehad’s daughters are saying is right. You must certainly give them property as an inheritance(N) among their father’s relatives and give their father’s inheritance to them.(O)

“Say to the Israelites, ‘If a man dies and leaves no son, give his inheritance to his daughter. If he has no daughter, give his inheritance to his brothers. 10 If he has no brothers, give his inheritance to his father’s brothers. 11 If his father had no brothers, give his inheritance to the nearest relative in his clan, that he may possess it. This is to have the force of law(P) for the Israelites, as the Lord commanded Moses.’”

Joshua to Succeed Moses

12 Then the Lord said to Moses, “Go up this mountain(Q) in the Abarim Range(R) and see the land(S) I have given the Israelites.(T) 13 After you have seen it, you too will be gathered to your people,(U) as your brother Aaron(V) was, 14 for when the community rebelled at the waters in the Desert of Zin,(W) both of you disobeyed my command to honor me as holy(X) before their eyes.” (These were the waters of Meribah(Y) Kadesh, in the Desert of Zin.)

15 Moses said to the Lord, 16 “May the Lord, the God who gives breath to all living things,(Z) appoint someone over this community 17 to go out and come in before them, one who will lead them out and bring them in, so the Lord’s people will not be like sheep without a shepherd.”(AA)

18 So the Lord said to Moses, “Take Joshua son of Nun, a man in whom is the spirit of leadership,[a](AB) and lay your hand on him.(AC) 19 Have him stand before Eleazar the priest and the entire assembly and commission him(AD) in their presence.(AE) 20 Give him some of your authority so the whole Israelite community will obey him.(AF) 21 He is to stand before Eleazar the priest, who will obtain decisions for him by inquiring(AG) of the Urim(AH) before the Lord. At his command he and the entire community of the Israelites will go out, and at his command they will come in.”

22 Moses did as the Lord commanded him. He took Joshua and had him stand before Eleazar the priest and the whole assembly. 23 Then he laid his hands on him and commissioned him,(AI) as the Lord instructed through Moses.

Footnotes

  1. Numbers 27:18 Or the Spirit