Add parallel Print Page Options

“Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
    era olinyoomererwa ddala.
(A)Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe,
    mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi,
    era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi.
Mmwe aboogera nti,
    ‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
(B)Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu
    era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye,
    ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter