Numbers 11
International Children’s Bible
Fire from the Lord
11 The people complained to the Lord about their troubles. When he heard them, he became angry. Fire from the Lord burned among the people. It burned the edge of the camp. 2 So the people cried out to Moses. He prayed to the Lord, and the fire stopped burning. 3 So that place was called Taberah.[a] The people named it that because the Lord’s fire had burned among them.
The 70 Older Leaders
4 Some troublemakers among them wanted better food. Soon all the Israelites began complaining. They said, “We want meat! 5 We remember the fish we ate for free in Egypt. We also had cucumbers, melons, leeks, onions and garlic. 6 But now we have lost our appetite. We never see anything but this manna!”
7 The manna was like small white seeds. 8 The people would go to gather it. Then they ground it in handmills. Or they crushed it between stones. They cooked it in a pot or made cakes with it. It tasted like bread baked with olive oil. 9 When the dew fell on the camp each night, so did the manna.
10 Moses heard every family crying. They stood in the entrances of their tents. The Lord became very angry. And Moses got upset. 11 He asked the Lord, “Why have you brought me this trouble? I’m your servant. What have I done wrong? Why did you make me responsible for all these people? 12 I am not the father of all these people. I didn’t give birth to them. Why do you make me carry them to the land you promised to our ancestors? Must I carry them in my arms as a nurse carries a baby? 13 Where can I get meat for all these people? They keep crying to me, ‘We want meat!’ 14 I can’t take care of all these people alone. It is too much for me. 15 If you are going to continue doing this to me, then kill me now. If you like me, put me to death. Then I won’t have any more troubles.”
16 The Lord said to Moses, “Bring me 70 of Israel’s elders. Pick men you know are leaders among the people. Bring them to the Meeting Tent. Have them stand there with you. 17 I will come down and speak with you there. I will take some of the Spirit that is in you. And I will give it to them. They will help you care for the people. Then you will not have to care for them alone.
18 “Tell the people this: ‘Make yourselves holy. Tomorrow you will eat meat. The Lord heard you cry, “We want meat! We were better off in Egypt!” So now the Lord will give you meat to eat. 19 You will not eat it for just 1, 2, 5, 10 or even 20 days. 20 You will eat that meat for a whole month. You will eat it until it comes out your nose. You will hate it. This is because you have rejected the Lord. He is here with you. But you have cried to him. You said, “Why did we ever leave Egypt?”’”
21 Moses said, “Lord, here are 600,000 men standing around me. And you say, ‘I will give them enough meat to eat for a month!’ 22 If we killed all the sheep and cattle, that would not be enough. If we caught all the fish in the sea, that would not be enough.”
23 But the Lord said to Moses, “Do you think I’m weak? You will see if I can do what I say.”
24 So Moses went out to the people. He told them what the Lord had said. Moses gathered 70 of the elders together. He had them stand around the Tent. 25 Then the Lord came down in the cloud and spoke to Moses. The Lord took some of the Spirit Moses had. And he gave it to the 70 leaders. With the Spirit in them, they prophesied, but just that one time.
26 Two men named Eldad and Medad were also listed as leaders. But they did not go to the Tent. They stayed in the camp. The Spirit was given to them. So they prophesied in the camp. 27 A young man ran to Moses. He said, “Eldad and Medad are prophesying in the camp.”
28 Joshua son of Nun said, “Moses, my master, stop them!” (Since he was a young boy, Joshua had been Moses’ assistant.)
29 But Moses answered, “Are you afraid for me? I wish all the Lord’s people could prophesy. I wish the Lord would give his Spirit to all of them!” 30 Then Moses and the leaders of Israel went back to the camp.
The Quail Come
31 The Lord sent a strong wind from the sea. It blew quail into the area all around the camp. The quail were about three feet above the ground. There were quail a day’s walk in any direction. 32 The people went out and gathered quail. They gathered all that day, that night and the next day. Everyone gathered at least 60 bushels. Then they spread them around the camp. 33 But the Lord became very angry. He gave the people a terrible sickness. This came while the meat was still in their mouths. 34 So the people named that place Kibroth Hattaavah.[b] They named it that because there they buried those who wanted other food.
35 From Kibroth Hattaavah the people went to stay at Hazeroth.
Okubala 11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abantu Beemulugunya
11 (A)Awo abantu ne beemulugunya olw’ebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo eby’olusiisira lwabwe. 2 (B)Abantu ne bakaabirira Musa; Musa n’asaba Mukama, omuliro ne guzikira. 3 (C)Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri Mukama gwabaakiramu.
Emmaanu
4 (D)Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; n’abaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako! 5 (E)Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju n’ensujju, n’enderema n’obutungulu ne katungulukyumu n’ebyokuliira. 6 Naye kaakano n’okwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”
7 (F)Emmaanu yafaanananga ng’ensigo za koliyanda, nga n’ekifaananyi kyayo kiri ng’ekya bideriamu. 8 Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa n’amafuta ga zeyituuni. 9 (G)Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro n’emmaanu nayo n’egwa nagwo.
Musa Asaba Ennyama
10 Musa n’awulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ng’akaabira mu muzigo gw’eweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa n’asoberwa n’anyiikaala. 11 (H)Musa n’agamba Mukama Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gw’abantu bano bonna? 12 (I)Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ng’omulezi w’abaana bw’asitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ng’ogirayirira bajjajjaabwe? 13 (J)Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’ 14 (K)Sisobola kusitula bantu bano bonna bw’omu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka. 15 (L)Obanga bw’otyo bw’ojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.”
Mukama Ayanukula Musa
16 Mukama n’agamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri b’omanyi nga be bakulu b’abantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe. 17 (M)Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gw’abantu oleme kugwetikkanga wekka.
18 (N)“Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lw’enkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye. 19 Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri; 20 (O)naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lw’erifulumira mu nnyindo zammwe n’ebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ”
21 (P)Musa n’agamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’ 22 (Q)Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna eby’omu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”
23 (R)Mukama n’agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”
24 Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama. 25 (S)Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.
26 Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira. 27 Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”
28 (T)Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”
29 (U)Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!” 30 Musa n’abakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira.
Mukama Aweereza Ennyama ey’Obugubi
31 (V)Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala. 32 Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira. 33 (W)Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo. 34 (X)Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube.
35 (Y)Abantu bwe baava e Kiberosu Katava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo.
The Holy Bible, International Children’s Bible® Copyright© 1986, 1988, 1999, 2015 by Thomas Nelson. Used by permission.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.