Add parallel Print Page Options

20 (A)Wabawa Omwoyo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu okulya, era wabawanga n’amazzi okumalawo ennyonta yaabwe. 21 (B)Wabalabirira okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwa kintu, so n’engoye zaabwe tezaayulika newaakubadde ebigere byabwe okuzimba.

22 (C)“Wabawa obwakabaka n’amawanga, n’obawa na buli nsonda ey’ebyalo. Baalya ensi ya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani.

Read full chapter