Add parallel Print Page Options

(A)Kanani, omu ku baganda bange, n’ajja n’abamu ku basajja okuva mu Yuda, ne mubuuza ku bikwata ku kitundu ky’Abayudaaya ekyasigalawo, ne ku bifa mu Yerusaalemi. (B)Ne bantegeeza nti, “Abaawaŋŋangusibwa abaddayo mu ssaza[a] bali mu kabi kanene ne mu nnaku nnyingi; bbugwe wa Yerusaalemi yamenyebwa, era ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro.” (C)Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda w’eggulu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:3 Obwakabaka bwa Buperusi bwalina amasaza asatu. Essaza lya Yuda lyafugibwanga mu Samaliya.