Okubala 24:15-24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okulagula kwa Balamu Okwokuna
15 N’alagula bw’ati nti,
“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
16 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda,
aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo
alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna
eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.
17 (A)“Mmulaba, naye si kaakano;
mmutunuulira, naye tali kumpi.
Emmunyeenye eriva ewa Yakobo;
omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri.
Alibetenta Mowaabu,
obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
18 (B)Edomu[a] aliwangulwa;
Seyiri, omulabe we, aliwangulwa,
naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
19 (C)Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo
n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”
Okulagula kwa Balamu Okusembayo
20 (D)Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti,
“Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga,
naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”
21 (E)N’alaba Abakeeni, n’alagula nti:
“Ekifo kyo w’obeera wagumu,
ekisu kyo kiri mu lwazi
22 (F)naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa
Asuli bw’alibatwala mu busibe.”
23 Ate n’alagula nti,
“Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
24 (G)Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu;
birifufuggaza Asuli ne Eberi[b],
naye nabyo birizikirira.”
Footnotes
- 24:18 Edomu Abayedomu bazzukulu ba Esawu.
- 24:24 Eberi ye jjajja w’Abaebbulaniya (1By 1:25-27).
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.