Add parallel Print Page Options

Yesu Atandika Okubuulira

12 (A)Yesu bwe yawulira nga Yokaana bamusibye mu kkomera n’agenda e Ggaliraaya. 13 (B)Bwe yava e Nazaaleesi n’agenda abeera e Kaperunawumu ekiri ku lubalama lw’ennyanja mu byalo by’e Zebbulooni n’e Nafutaali. 14 Kino ne kituukiriza ekyayogerwa nnabbi Isaaya ng’agamba nti,

15 “Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja,
    n’ebyalo ebiri emitala w’omugga Yoludaani,
    n’e Ggaliraaya ey’ekyengulu omuli bannaggwanga abangi,
16 (C)abantu abaatuulanga mu kizikiza,
    balabye Omusana mungi.
Abaatuulanga mu nsi ey’ekisiikirize eky’okufa,
    omusana gubaakidde.”

17 (D)Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”

Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka

18 (E)Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 19 (F)Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” 20 Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.

21 (G)Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere. 22 Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.

Yesu Awonya Abalwadde

23 (H)Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu.

Read full chapter