Add parallel Print Page Options

13 (A)Kyenva njigiriza mu ngero:

“Abalaba baleme okulaba,
    n’abawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.

14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,

“ ‘Muliwulira naye temulitegeera
    n’okulaba muliraba naye temulimanya.
15 (B)Kubanga omutima gw’abantu bano
    gwesibye,
    n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.
N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,
    wadde omutima gwabwe okutegeera,
ne bakyuka
    ne mbawonya.’

16 (C)Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira.

Read full chapter