Matayo 8:9-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 Kubanga nange waliwo abakulu abantwala, ate nga nange nnina be nfuga. Bwe ndagira omu nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ era ajja, n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
10 (A)Yesu bwe yawulira ekyo ne yeewunya nnyo, n’agamba abaali bamugoberera nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Sinnalabayo muntu alina kukkiriza nga kuno wadde mu lsirayiri! 11 (B)Mbagamba nti bangi baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba ne batuula wamu ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo mu bwakabaka obw’omu ggulu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.