Add parallel Print Page Options

Yesu Awonya Nnyina wa muka Peetero

14 Awo Yesu bwe yayingira mu maka ga Peetero yasanga nnyina wa muka Peetero alwadde omusujja mungi, ng’agalamidde ku kitanda. 15 Yesu n’amukwata ku mukono omusujja ne gumuwonako, n’agolokoka n’amuweereza.

16 (A)Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. N’ayogera bwogezi kigambo baddayimooni n’abagoba, era n’awonya n’abalala bonna abaali balwadde.

Read full chapter