Add parallel Print Page Options

13 Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.” 14 (A)Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.” 15 Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.

Read full chapter