Add parallel Print Page Options

34 (A)Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde. 35 (B)Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”

Olunaku n’Essaawa Tebimanyiddwa

36 (C)“Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka.

Read full chapter