Matayo 24:2-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)naye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”
3 (B)Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?”
4 Yesu n’abaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.