Add parallel Print Page Options

24 (A)Mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira!

25 (B)“Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka. 26 Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu.

Read full chapter