Add parallel Print Page Options

25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? Kwava mu ggulu oba mu bantu?” Ne basooka ne boogeraganyaamu bokka na bokka nti, “Bwe tugamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale lwaki temwamukkiriza?’  26 (A)Ate bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu bantu,’ tutya ekibiina, kubanga bonna bamanyi nga Yokaana yali nnabbi.”

27 Bwe batyo ne baddamu nti, “Tetumanyi!” Yesu kwe kubaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza bwe nkozesa bino.”

Read full chapter