Add parallel Print Page Options

(A)Omusajja omugenge n’ajja gy’ali n’amuvuunamira ng’agamba nti, “Mukama wange, bw’obanga oyagala oyinza okunnongoosa.”

Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago omusajja n’awona ebigenge. (B)Yesu n’amugamba nti, “Laba, tobaako muntu n’omu gw’obuulira, wabula genda weerage eri kabona otwaleyo n’ekirabo nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”

Read full chapter

Yesu Awonya Omugenge

40 (A)Awo omugenge[a] n’ajja eri Yesu ne yeegayirira ng’afukamidde mu maaso ge, n’amugamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okunnongoosa.” 41 Yesu n’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti, “Nsiimye, longooka!” 42 Amangwago ebigenge ne bimuwonako, n’aba mulongoofu. 43 Awo Yesu n’amukuutira nnyo n’amusiibula, 44 (B)ng’agamba nti, “Kino tokibuulirako muntu n’omu, wabula genda weeyanjule eri kabona, oweeyo n’ekirabo Musa kye yalagira okuweebwangayo, okuba obujulirwa gye bali.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:40 ekigambo ekyakozesebwa mu Luyonaani kitegeeza endwadde zonna ez’olususu, si bigenge byokka

Yesu Awonya Omusajja Omugenge

12 (A)Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu n’avuunama mu maaso ge, n’amwegayirira nti, “Mukama wange, bw’oba ng’oyagala, oyinza okunnongoosa.”

13 Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako, ng’agamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge by’omusajja ne bimuwonako.

14 (B)Yesu n’alagira omusajja nti, “Tobaako muntu n’omu gw’ogamba, naye genda weeyanjule eri kabona oweeyo ekiweebwayo olw’okulongosebwa nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”

Read full chapter

14 (A)Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.

Read full chapter