Add parallel Print Page Options

Okulabula Bakabona

(A)“Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe. (B)Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.

(C)“Kale laba, ndibonereza ezzadde lyammwe, mbasiige n’obusa mu maaso, obusa bwa ssaddaaka zammwe, era mbagobewo mu maaso gange. (D)Olwo lwe mulimanya nga mbawadde ekiragiro kino, endagaano yange ne Leevi eryoke etuukirire,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (E)“Endagaano eri mu mateeka ago yali egenderedde kuleeta bulamu na mirembe era n’embimuwa asobole okuntya, era n’antya n’ayimirira ng’atya erinnya lyange. (F)Amateeka ag’amazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era n’aggya bangi mu kibi.

(G)“Kubanga emimwa gy’abasumba gisaana okukuuma eby’amagezi ebya Katonda era abantu basaana okunoonya okutegeera okuva mu bo, kubanga be babaka ba Mukama ow’Eggye. (H)Naye mwakyama ne muva mu kkubo; mwesittaza bangi olw’ebyo bye muyigiriza; mwayonoona endagaano ya Leevi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (I)“Noolwekyo nabafuula ekinyoomebwa era ekisekererwa mu maaso g’abantu bonna olw’obutagoberera makubo gange era musala emisango nga musaliriza.”

Okulabula eri Abatali Beesigwa mu Maka

10 (J)Kale ffenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki kale tetuli beesigwa eri bantu bannaffe, ne twonoona endagaano ya bakitaffe?

11 (K)Yuda takuumye bwesigwa n’eby’omuzizo ne bikolebwa mu Isirayiri ne mu Yerusaalemi. Kubanga Yuda yayonoona ekifo kya Mukama ekitukuvu, ky’ayagala ennyo, bwe yawasa omuwala wa lubaale. 12 (L)Buli muntu yenna akola kino, oba kabona oba muntu wa bulijjo, Mukama alimuggya mu kika kya Yakobo, newaakubadde ng’aleeta ebiweebwayo eri Mukama ow’Eggye!

13 (M)Ekirala kye mukola kye kino: Ekyoto kya Mukama mukijjuzza amaziga, nga mukaaba nga mukuba ebiwoobe kubanga ebiweebwayo byammwe takyabifaako. 14 (N)Kale mubuuza nti, “Lwaki tabifaako?” Kubanga Mukama yali mujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo, naye ggwe tewali mwesigwa, ng’olimbalimba newaakubadde nga yali munno era mukazi wo gwe walagaana naye endagaano.

15 (O)Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.

16 (P)“Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.

Olunaku olw’Okusala Omusango

17 (Q)Mukama mumukooyezza n’ebigambo byammwe.

Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?”

Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?”

The Priests Do Not Teach the Lord’s Word Correctly

“And now, you priests, this warning is for you. If you won’t listen and if you won’t consider giving honor to my name,” says the Lord of Armies, “then I’ll send a curse on you, and I’ll curse the blessings you give. Yes, I’ve already cursed them because you don’t carefully consider this.

“I’m going to punish your descendants. I’m going to spread excrement on your faces, the excrement from your festival sacrifices. You will be discarded with it. Then you will know that I sent you this warning so that my promise [a] to Levi will continue,” says the Lord of Armies. “I promised Levi life and peace. I gave them to him so that he would respect me. He respected me and stood in awe of my name. The teaching that came from his mouth was true. Nothing unjust was found on his lips. He lived with me in peace and honesty and turned many people away from sin.

“A priest’s lips should preserve knowledge. Then, because he is the messenger for the Lord of Armies, people will seek instruction from his mouth.

“But you have turned from the ⌞correct⌟ path and caused many to stumble over my teachings. You have corrupted the promise made to Levi,” says the Lord of Armies. “So I have made you disgusting, and I have humiliated you in front of all the people, because you have not followed my ways. You have been unfair when ⌞applying⌟ my teachings.”

The People Break Their Marriage Vows

10 Don’t all of us have the same father? Hasn’t the same God created us? Why are we unfaithful to each other? And why do we dishonor the promise given to our ancestors? 11 Judah has been unfaithful! A disgusting thing has been done in Israel and Jerusalem. Judah has dishonored the holy place that the Lord loves and has married a woman who worships a foreign god. 12 May the Lord exclude anyone who does this, whoever he may be. May he exclude them from Jacob’s tents and from bringing offerings to the Lord of Armies.

13 Here is another thing you do: You cover the Lord’s altar with tears. You moan and groan because he no longer pays attention to your offerings or accepts them from you.

14 But you ask, “Why ⌞aren’t our offerings accepted⌟?” It is because the Lord is a witness between you and the wife of your youth, to whom you have been unfaithful. Yet, she is your companion, the wife of your marriage vows. 15 Didn’t ⌞God⌟ make you one? Your flesh and spirit belong to him. And what does the same ⌞God⌟ look for but godly descendants? So be careful not to be unfaithful to the wife of your youth.

16 “I hate divorce,” says the Lord God of Israel. “I hate the person who covers himself with violence,” says the Lord of Armies. “Be careful not to be unfaithful.”

17 You have tried the patience of the Lord with your words.

But you ask, “How have we tried his patience?”

When you say, “Everyone who does evil is considered good by the Lord. He is pleased with them,” or “Where is the God of justice?”

Footnotes

  1. 2:4 Or “covenant.”