Add parallel Print Page Options

(A)“Kale nno mbasaba mwegayirire Katonda, atukwatirwe ekisa, kubanga ebyo ffe twabyereetera. Nga muleese ebiweebwayo ebifaanana bityo, waliwo n’omu gw’ayinza okukkiriza?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

10 (B)“Kale waakiri singa omu ku bakabona aggalawo enzigi muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange ogw’obwereere! Sibasanyukira n’akatono,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “so sikkirize kiweebwayo kyonna ekiva mu mikono gyammwe. 11 (C)Kubanga okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu baamawanga; obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, nga kuliko n’ekiweebwayo ekirongoofu, kubanga erinnya lyange kkulu mu baamawanga,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Read full chapter