Add parallel Print Page Options

27 Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bw’atyo n’ajja nga yeenyigiriza mu kibiina ky’abantu n’atuuka emabega wa Yesu, n’akoma ku kyambalo kye. 28 (A)Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona.” 29 (B)Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto ky’omusaayi ne kikalira n’ategeerera ddala ng’awonye.

Read full chapter