Makko 4:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)naye okweraliikirira n’okusikirizibwa eby’obugagga n’okwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala.
Read full chapter
Lukka 12:40
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
40 (A)Noolwekyo mubeere beetegefu. Kubanga Omwana w’Omuntu, ajjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”
Read full chapter
Lukka 12:46
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
46 (A)mukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.
Read full chapter
1 Basessaloniika 5:2-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. 3 Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
4 (B)Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; 5 Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. 6 (C)Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. 7 (D)Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.