Add parallel Print Page Options

Ekirabo kya Nnamwandu

41 (A)Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.[a] 42 Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.[b]

43 Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:41 Etterekero ly’ensimbi mu yeekaalu lyabeeranga mu luggya lw’abakazi. Abasajja n’abakazi bakkirizibwanga mu luggya olwo, kyokka ng’abakazi bo bakoma awo, ate abasajja bo nga beeyongerayo munda mu yeekaalu
  2. 12:42 ze ssente ezaali zisingirayo ddala okuba eza wansi mu muwendo mu Palesitayini mu biro ebyo