Add parallel Print Page Options

(A)eddoboozi ly’oyo ayogelera waggulu mu ddungu nti,
‘Muteeketeeke ekkubo lya Mukama,
    mutereeze amakubo ge.’ ”

(B)Yokaana yajja ng’abatiriza mu ddungu, ng’abuulira okubatiza okw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi. Ensi yonna ey’e Buyudaaya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bagendanga gy’ali, n’ababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe.

Read full chapter