Add parallel Print Page Options

Yesu n’addamu nti, “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kino. (A)Okubatiza kwa Yokaana kwava eri Katonda nandiki kwava mu bantu?”

Ne basooka okwogeraganyaamu bokka ne bokka nga bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ (B)Naye ate bwe tunaddamu nti, ‘Kwava mu bantu,’ abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bamatizibwa nti Yokaana yali nnabbi.”

Kyebaava baddamu nti, “Tetumanyi gye kwava.”

Yesu n’abagamba nti, “Nange sijja kubabuulira gye nzigya obuyinza obunkozesa bino.”

Read full chapter