论罪、信心和本分

17 耶稣教导门徒说:“引人犯罪的事是免不了的,但引人犯罪的人有祸了。 谁使一个卑微的弟兄失足犯罪,他的下场比把大磨石拴在他脖子上扔到海里还要惨。 你们要小心谨慎!你的弟兄若犯了罪,要责备他。他若悔改,要饶恕他。 就算他一天得罪你七次,每次都对你说,‘我悔改’,你都要饶恕他。”

使徒对主说:“请你加添我们的信心。”

主说:“如果你们的信心像一粒芥菜种那么大,便可对这棵桑树说,‘连根拔起,栽在大海里!’它必服从你们。

“你们谁会对种田或放羊回来的奴仆说,‘请赶快坐下来吃饭’? 不都是吩咐他‘给我准备晚饭,束上腰带伺候我用餐,等我吃完,你才可以吃’吗? 奴仆照着吩咐去做,主人会谢他吗? 10 同样,你们照着吩咐把事情办妥后,也该这样说,‘我们是无用的奴仆,所做的不过是分内的事。’”

十个麻风病人

11 耶稣继续前往耶路撒冷,途经撒玛利亚和加利利的交界处。 12 祂进入一个村庄时,十个麻风病人迎面而来。他们远远地站着, 13 高声呼喊道:“耶稣,老师啊,求你可怜我们吧!”

14 耶稣看见他们,就说:“去让祭司察看你们的身体。”

他们去的时候,就洁净了。 15 其中一个发现自己痊愈了,就跑回来,高声赞美上帝, 16 又俯伏在耶稣的脚前连连称谢。这人是撒玛利亚人。

17 耶稣说:“被医好的不是有十个人吗?其他九个呢? 18 回来赞美称颂上帝的只有这个外族人吗?” 19 于是祂对那人说:“起来回去吧!你的信心救了你。”

上帝国的降临

20 法利赛人问耶稣:“上帝的国什么时候降临?”

耶稣回答说:“上帝国的降临并没有看得见的征兆。 21 所以没有人能说,‘上帝的国在这里’,或说,‘在那里’,因为上帝的国就在你们心里[a]。”

22 祂又对门徒说:“时候将到,你们将渴望见到人子降临的日子,可是你们却见不到。 23 有人将对你们说,‘看啊,祂在这里!’或说,‘看啊,祂在那里!’你们不要出去,也不要追随他们。 24 因为人子降临的时候必如划过长空的闪电,从天这边一直照亮到天那边。 25 但祂必须先受苦,被这个世代弃绝。

26 “人子降临时的情形将像挪亚的时代, 27 人们吃喝嫁娶,一直到挪亚进入方舟那天,洪水来了,毁灭了他们; 28 又像罗得的时代,人们吃喝、做买卖、耕地、盖房。 29 在罗得离开所多玛那天,烈火和硫磺从天而降,把他们全毁灭了。

30 “人子显现之日的情形也是如此。 31 那天,在自己屋顶上的,不要下来收拾行李;在田里工作的,也不要回家。 32 你们要记住罗得妻子的事。 33 想保全生命的,必丧失生命;丧失生命的,必保全生命。 34 我告诉你们,那天晚上,两个人睡在一张床上,一个将被接去,一个将被撇下; 35 两个女人一起推磨,一个将被接去,一个将被撇下; 36 两个人在田间,一个将被接去,一个将被撇下。[b]

37 门徒问:“主啊,在哪里有这事呢?”

耶稣回答说:“尸体在哪里,秃鹰就会聚集在哪里。”

Footnotes

  1. 17:21 在你们心里”或作“在你们当中”。
  2. 17:36 有古卷无36节。

Ekibi, Okukkiriza, Omulimu

17 (A)Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta. (B)Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato. (C)Mwekuume.

“Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. (D)Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”

(E)Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”

(F)Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.

“Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’ (G)Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’ Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola? 10 (H)Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ”

Abagenge Kkumi Bawonyezebwa

11 (I)Awo Yesu bwe yali yeeyongerayo mu lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, n’akwata ekkubo eriyita wakati wa Ggaliraaya ne Samaliya. 12 (J)Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako 13 (K)ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!”

14 (L)Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.

15 (M)Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. 16 (N)N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.

17 Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? 18 Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?” 19 (O)Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”

Okujja kw’Obwakabaka bwa Katonda

20 (P)Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja, 21 (Q)era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”

22 (R)Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba. 23 (S)Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga. 24 (T)Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe, 25 (U)Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno.

26 (V)“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. 27 Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.

28 (W)“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.

30 (X)“Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako. 31 (Y)Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. 32 (Z)Mujjukire mukazi wa Lutti! 33 (AA)Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya. 34 Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa. 35 (AB)Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. 36 Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.”

37 (AC)Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?”

Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega[a] we zirikuŋŋaanira!”

Footnotes

  1. 17:37 Empungu mu Luyonaani, naye e Buganda okusinga tulina nsega