Add parallel Print Page Options

28 (A)“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.

30 (B)“Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako. 31 (C)Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. 32 (D)Mujjukire mukazi wa Lutti! 33 (E)Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya. 34 Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa. 35 (F)Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. 36 Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.”

37 (G)Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?”

Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega[a] we zirikuŋŋaanira!”

Read full chapter

Footnotes

  1. 17:37 Empungu mu Luyonaani, naye e Buganda okusinga tulina nsega