Leviticus 1
English Standard Version
Laws for Burnt Offerings
1 (A)The Lord called Moses and spoke to him (B)from the tent of meeting, saying, 2 “Speak to the people of Israel and say to them, (C)When any one of you brings an offering to the Lord, you shall bring your offering of livestock from the herd or from the flock.
3 “If his offering is a burnt offering from the herd, he shall offer (D)a male without blemish. He shall bring it to the entrance of the tent of meeting, that he may be accepted before the Lord. 4 (E)He shall lay his hand on the head of the burnt offering, and it shall be (F)accepted for him (G)to make atonement for him. 5 Then he shall kill the bull before the Lord, and Aaron's sons the priests shall bring the blood (H)and throw the blood against the sides of the altar that is at the entrance of the tent of meeting. 6 Then he shall flay the burnt offering and cut it into pieces, 7 and the sons of Aaron the priest shall put fire on the altar and (I)arrange wood on the fire. 8 And Aaron's sons the priests shall arrange the pieces, the head, and the fat, on the wood that is on the fire on the altar; 9 but its entrails and its legs he shall wash with water. And the priest shall burn all of it on the altar, as (J)a burnt offering, a food offering[a] with a (K)pleasing aroma to the Lord.
10 “If his gift for a burnt offering is from the flock, from the sheep or goats, he shall bring a male without blemish, 11 (L)and he shall kill it on the north side of the altar before the Lord, and Aaron's sons the priests shall throw its blood against the sides of the altar. 12 And he shall cut it into pieces, with its head and its fat, and the priest shall arrange them on the wood that is on the fire on the altar, 13 but the entrails and the legs he shall wash with water. And the priest shall offer all of it and burn it on the altar; it is (M)a burnt offering, a food offering with (N)a pleasing aroma to the Lord.
14 “If his offering to the Lord is a burnt offering of birds, then he shall bring his offering of (O)turtledoves or pigeons. 15 And the priest shall bring it to the altar and wring off its head and burn it on the altar. Its blood shall be drained out on the side of the altar. 16 He shall remove its crop with its contents[b] and cast it (P)beside the altar on the east side, in the place for ashes. 17 He shall tear it open by its wings, but (Q)shall not sever it completely. And the priest shall burn it on the altar, on the wood that is on the fire. It is a burnt offering, a food offering with a pleasing aroma to the Lord.
Footnotes
- Leviticus 1:9 Or an offering by fire; so throughout Leviticus
- Leviticus 1:16 Or feathers
Ebyabaleevi 1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Etteeka ery’Ekiweebwayo Ekyokebwa
1 (A)Awo Mukama n’ayita Musa, n’ayogera naye ng’asinziira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. N’amulagira nti, 2 (B)“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’
3 (C)“Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa[a] nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama. 4 (D)Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye. 5 (E)Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 6 (F)Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, n’akitemaatemamu ebifi. 7 (G)Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo. 8 (H)Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. 9 (I)Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
10 (J)“Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo. 11 (K)Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula. 12 Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu abitaddeko, n’abissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto. 13 Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
14 (L)“Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento. 15 (M)Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto. 16 (N)Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu. 17 (O)Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
Footnotes
- 1:3 ekiweebwayo ekyokebwa Ebika by’ensolo bisatu bye byaweebwangayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa, okusinziira ku mbeera y’omuntu awaayo ssaddaaka: ente sseddume yaweebwangayo abantu abagagga; endiga n’embuzi (lunny 10) n’ebinyonyi (lunny 14) byaweebwangayo abantu abaavu (5:7; 12:8)
The ESV® Bible (The Holy Bible, English Standard Version®), © 2001 by Crossway, a publishing ministry of Good News Publishers. ESV Text Edition: 2025.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
