Add parallel Print Page Options

Obujeemu bwa Isirayiri

(A)“Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
    naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
    naye ebiwundu alibinyiga.
(B)Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku
    olwokusatu alituzza buggya,
    ne tubeera balamu mu maaso ge.
(C)Tumanye Mukama;
    tunyiikire okumumanya.
Ng’enjuba bw’evaayo enkya,
    bw’atyo bw’alirabika;
alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,
    era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”

(D)Nkukolere ki, Efulayimu?
    Nkukolere ki, Yuda?
Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,
    era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
(E)Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,
    ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,
    era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
(F)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
    era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
(G)Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano,
    tebaali beesigwa.
Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi,
    era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
(H)Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo,
    n’ebibiina bya bakabona
bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu,
    ne bazza emisango egy’obuswavu.
10 (I)Ndabye eby’ekivve
    mu nnyumba ya Isirayiri;
era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya,
    ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.

11 (J)“Naawe Yuda,
    amakungula gatuuse.

“Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,