Add parallel Print Page Options

(A)Ebikolwa byabwe tebibaganya
    kudda eri Katonda waabwe,
kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,
    so tebamanyi Mukama.
(B)Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;
    Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;
    ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
(C)Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe
    okunoonya Mukama,
tebalimulaba;
    abaviiridde, abeeyawuddeko.

Read full chapter