Add parallel Print Page Options

10 (A)Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza;
    amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo,
    ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
11 Efulayimu nnyana ntendeke
    eyagala okuwuula;
kyendiva nteeka ekikoligo
    mu nsingo ye ennungi.
Ndigoba Efulayimu
    ne Yuda ateekwa okulima
    ne Yakobo ateekwa okukabala.
12 (B)Musige ensigo ez’obutuukirivu,
    mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;
mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,
    kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,
okutuusa lw’alidda
    n’abafukako obutuukirivu.

Read full chapter