Balam 3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Waliwo amawanga Mukama gaatazikiriza asobole okuyigiririzaako Abayisirayiri bonna abataamanya ntalo zonna ez’omu Kanani; 2 Kino kiyaambe Abayisirayiri ab’omulembe omuggya abatalwanangako okukuguka mu by’entalo. 3 (B)Ge gano: Abakungu abataano ab’Abafirisuuti, Abakanani bonna, Abasidoni, n’Abakiivi abaabeeranga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi. 4 (C)Era gaalekebwawo okugezesa Abayisirayiri obanga baligondera amateeka ga Mukama ge yalagira bajjajjaabwe ng’ayita mu Musa.
5 (D)Abayisirayiri ne babeeranga wamu n’Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abakiivi n’aba Yebusi. 6 (E)Ne bawasanga abawala ab’omu mawanga ago era ne bafumbizanga bawala baabwe eri abalenzi b’omu mawanga ago ne basinzanga ne bakatonda baabwe.
Okufuga kwa Osunieri
7 (F)Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne beerabira Mukama Katonda waabwe ne basinzanga Babaali ne Baasera. 8 (G)Noolwekyo Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri, kyeyava abawaayo okuwangulwa n’okufugibwa kabaka Kusanurisasaimu ow’e Mesopotamiya okumala emyaka munaana. 9 (H)Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula erinnya lye Osunieri azaalibwa Kenezi muto wa Kalebu. 10 (I)Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri. 11 Awo ne wayitawo emyaka ana ng’Abayisirayiri bali mu mirembe okutuusa ddala Osunieri mutabani wa Kenazi lwe yafa.
Okufuga kwa Ekudi
12 (J)Ate era Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama; kyeyava awa Eguloni kabaka wa Mowaabu amaanyi okubawangula olw’ebibi byabwe. 13 (K)Ne yegatta n’Abamoni n’Abamaleki[a] ne balumba Abayisirayiri era ne babawambako ekibuga kyabwe eky’enkindu. 14 Abayisirayiri ne bafugibwa Egulooni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana.
15 (L)Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula ayitibwa Ekudi ow’enkonokono mutabani wa Gera ow’omu kika kya Benyamini; era oyo Abayisirayiri gwe baatuma okutwala ekirabo kyabwe eri Egulooni kabaka wa Mowaabu. 16 Ekudi ne yeewesezza ekitala ekirina obwogi erudda n’erudda nga kiweza sentimita ana mu ttaano obuwanvu. N’akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze. 17 (M)N’atwalira Egulooni kabaka wa Mowaabu ekirabo. Egulooni yali musajja munene nnyo. 18 Awo bwe yamala okuwaayo ekirabo, n’agobawo abajja bakyetisse. 19 Ekudi n’akoma awaali amayinja amoole kumpi ne Girugaali n’addayo eri Egulooni n’amugamba nti, “Nnina obubaka obw’ekyama gy’oli.” Kabaka n’agobawo bonna be yali nabo era ne bamuviira.
20 Awo kabaka bwe yali ng’atudde bw’omu mu nnyumba ye, mu kisenge ekya waggulu ekiweweevu, Ekudi n’amusemberera era n’amugamba nti, “Nnina obubaka obuva eri Katonda gy’oli.” Kabaka n’asituka mu ntebe ye. 21 Ekudi n’asowolayo ekitala kye n’omukono ogwa kkono ng’akiggya ku kisambi kye ekya ddyo n’akisogga kabaka mu lubuto; 22 ekitala kyonna n’ekiti kyakyo ne kimubuliramu, amasavu ne gakibuutikira era n’atayinza na kukisowolamu. Ebyenda bya kabaka ne biyiika. 23 Ekudi n’asibawo oluggi oluyingira mu kisenge ekya waggulu, n’afulumira mu mulyango ogw’emanju.
24 (N)Bwe yali nga yakafuluma abaweereza ba kabaka ne bajja. Bwe baalaba nga enzigi nsibe ne balowooza nti, “Kabaka ateekwa okuba ng’agenze manju.” 25 (O)Bwe baakoowa okulindirira ne baddira ekisumuluzo ne basumululawo, baagenda okulaba ng’omulambo gwa mukama waabwe gugudde bugazi mu kisenge.
26 Mu kiseera kye baamala nga balindirira kabaka okuggulawo Ekudi mwe yaddukira n’ayita ku mayinja amoole n’atuuka e Seyiri. 27 (P)Bwe yatuuka mu kitundu eky’ensozi ekya Efulayimu n’akiyitamu nga bw’afuuwa ekkondeere, Abayisirayiri ne bamwegattako ye nga abakulembeddemu.
28 (Q)N’abagamba nti, “Mungoberere kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku balabe bammwe Abamowaabu.” Ne bamugoberera ne bawamba ekifo awasomokerwa ekyali kyolekedde aba Mowaabu ku mugga Yoludaani; Abayisirayiri ne bataganya muntu yenna kusomoka. 29 Ne batta ku basajja abalwanyi abazira aba Mowaabu mutwalo mulamba; teri n’omu ku bo yasimattuka. 30 (R)Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemulula Abamowaabu ku lunaku olwo. Okuva ku olwo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.
Samugali
31 (S)Omukulembeze eyaddira Ekudi mu bigere ye Samugali mutabani wa Anasi era naye yanunula Abayisirayiri. Ye wuuyo eyatta abasajja Abafirisuuti lukaaga nga yeeyambisa omuwunda gwe bagobesa ente nga zirima.
Judges 3
World English Bible
3 Now these are the nations which Yahweh left, to test Israel by them, even as many as had not known all the wars of Canaan; 2 only that the generations of the children of Israel might know, to teach them war, at least those who knew nothing of it before: 3 the five lords of the Philistines, all the Canaanites, the Sidonians, and the Hivites who lived on Mount Lebanon, from Mount Baal Hermon to the entrance of Hamath. 4 They were left to test Israel by them, to know whether they would listen to Yahweh’s commandments, which he commanded their fathers by Moses. 5 The children of Israel lived among the Canaanites, the Hittites, the Amorites, the Perizzites, the Hivites, and the Jebusites. 6 They took their daughters to be their wives, and gave their own daughters to their sons and served their gods. 7 The children of Israel did that which was evil in Yahweh’s sight, and forgot Yahweh their God, and served the Baals and the Asheroth. 8 Therefore Yahweh’s anger burned against Israel, and he sold them into the hand of Cushan Rishathaim king of Mesopotamia; and the children of Israel served Cushan Rishathaim eight years. 9 When the children of Israel cried to Yahweh, Yahweh raised up a savior to the children of Israel, who saved them, even Othniel the son of Kenaz, Caleb’s younger brother. 10 Yahweh’s Spirit came on him, and he judged Israel; and he went out to war, and Yahweh delivered Cushan Rishathaim king of Mesopotamia into his hand. His hand prevailed against Cushan Rishathaim. 11 The land had rest forty years, then Othniel the son of Kenaz died.
12 The children of Israel again did that which was evil in Yahweh’s sight, and Yahweh strengthened Eglon the king of Moab against Israel, because they had done that which was evil in Yahweh’s sight. 13 He gathered the children of Ammon and Amalek to himself; and he went and struck Israel, and they possessed the city of palm trees. 14 The children of Israel served Eglon the king of Moab eighteen years. 15 But when the children of Israel cried to Yahweh, Yahweh raised up a savior for them: Ehud the son of Gera, the Benjamite, a left-handed man. The children of Israel sent tribute by him to Eglon the king of Moab. 16 Ehud made himself a sword which had two edges, a cubit[a] in length; and he wore it under his clothing on his right thigh. 17 He offered the tribute to Eglon king of Moab. Now Eglon was a very fat man. 18 When Ehud had finished offering the tribute, he sent away the people who carried the tribute. 19 But he himself turned back from the stone idols that were by Gilgal, and said, “I have a secret message for you, O king.”
The king said, “Keep silence!” All who stood by him left him.
20 Ehud came to him; and he was sitting by himself alone in the cool upper room. Ehud said, “I have a message from God to you.” He arose out of his seat. 21 Ehud put out his left hand, and took the sword from his right thigh, and thrust it into his body. 22 The handle also went in after the blade; and the fat closed on the blade, for he didn’t draw the sword out of his body; and it came out behind. 23 Then Ehud went out onto the porch, and shut the doors of the upper room on him, and locked them.
24 After he had gone, his servants came and saw that the doors of the upper room were locked. They said, “Surely he is covering his feet[b] in the upper room.” 25 They waited until they were ashamed; and behold, he didn’t open the doors of the upper room. Therefore they took the key and opened them, and behold, their lord had fallen down dead on the floor.
26 Ehud escaped while they waited, passed beyond the stone idols, and escaped to Seirah. 27 When he had come, he blew a trumpet in the hill country of Ephraim; and the children of Israel went down with him from the hill country, and he led them.
28 He said to them, “Follow me; for Yahweh has delivered your enemies the Moabites into your hand.” They followed him, and took the fords of the Jordan against the Moabites, and didn’t allow any man to pass over. 29 They struck at that time about ten thousand men of Moab, every strong man and every man of valor. No man escaped. 30 So Moab was subdued that day under the hand of Israel. Then the land had rest eighty years.
31 After him was Shamgar the son of Anath, who struck six hundred men of the Philistines with an ox goad. He also saved Israel.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
by Public Domain. The name "World English Bible" is trademarked.