Joshua 2
English Standard Version
Rahab Hides the Spies
2 And Joshua the son of Nun (A)sent[a] two men secretly from Shittim as spies, saying, “Go, view the land, especially Jericho.” And they went and came into the house of (B)a prostitute whose name was (C)Rahab and lodged there. 2 And it was told to the king of Jericho, “Behold, men of Israel have come here tonight to search out the land.” 3 Then the king of Jericho sent to Rahab, saying, “Bring out the men who have come to you, who entered your house, for they have come to search out all the land.” 4 But the woman had taken the two men and hidden them. And she said, “True, the men came to me, but I did not know where they were from. 5 And when the gate was about to be closed at dark, the men went out. I do not know where the men went. Pursue them quickly, for you will overtake them.” 6 But she had brought them up to the roof and hid them with the stalks of flax that she had laid in order on the roof. 7 So the men pursued after them on the way to the Jordan (D)as far as the fords. And the gate was shut as soon as the pursuers had gone out.
8 Before the men[b] lay down, she came up to them on the roof 9 and said to the men, “I know that the Lord has given you the land, (E)and that the fear of you has fallen upon us, and that all the inhabitants of the land (F)melt away before you. 10 For we have heard how the Lord (G)dried up the water of the Red Sea before you when you came out of Egypt, and (H)what you did to the two kings of the Amorites who were beyond the Jordan, to (I)Sihon and Og, whom you devoted to destruction.[c] 11 And (J)as soon as we heard it, (K)our hearts melted, and there was no spirit left in any man because of you, for (L)the Lord your God, he is God in the heavens above and on the earth beneath. 12 Now then, please swear to me by the Lord that, as I have dealt kindly with you, you also will deal kindly with my father's house, and (M)give me a sure sign 13 that you will save alive my father and mother, my brothers and sisters, and all who belong to them, and deliver our lives from death.” 14 And the men said to her, “Our life for yours even to death! If you do not tell this business of ours, then when the Lord gives us the land (N)we will deal kindly and faithfully with you.”
15 Then she (O)let them down by a rope through the window, for her house was built into the city wall, so that she lived in the wall. 16 And she said[d] to them, “Go into the hills, or the pursuers will encounter you, and hide there three days until the pursuers have returned. Then afterward you may go your way.” 17 The men said to her, “We will be guiltless with respect to this oath of yours that you have made us swear. 18 (P)Behold, when we come into the land, you shall tie this scarlet cord in the window through which you let us down, (Q)and you shall gather into your house your father and mother, your brothers, and all your father's household. 19 Then if anyone goes out of the doors of your house into the street, (R)his blood shall be on his own head, and we shall be guiltless. But if a hand is laid on anyone who is with you in the house, his blood shall be on our head. 20 But if you (S)tell this business of ours, then we shall be guiltless with respect to your oath that you have made us swear.” 21 And she said, “According to your words, so be it.” Then she sent them away, and they departed. And she tied the scarlet cord in the window.
22 They departed and went into the hills and remained there three days until the pursuers returned, and the pursuers searched all along the way and found nothing. 23 Then the two men returned. They came down from the hills and (T)passed over and came to Joshua the son of Nun, and they told him all that had happened to them. 24 And they said to Joshua, “Truly (U)the Lord has given all the land into our hands. And also, all the inhabitants of the land (V)melt away because of us.”
Footnotes
- Joshua 2:1 Or had sent
- Joshua 2:8 Hebrew they
- Joshua 2:10 That is, set apart (devoted) as an offering to the Lord (for destruction)
- Joshua 2:16 Or had said
Yoswa 2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abakessi Baweerezebwa e Yeriko
2 (A)Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n’atuma abasajja babiri okuva e Sittimu bagende mu kyama bakette, n’abagamba nti, “Mugende mwekkaanye ensi eyo na ddala ekibuga Yeriko[a].” Bwe batyo ne bagenda. Bwe baatuukayo ne bayingira mu nnyumba y’omukazi malaaya ayitibwa Lakabu ne basula omwo. 2 Naye kabaka wa Yeriko n’akitegeera nti waliwo abasajja Abayisirayiri abazze ekiro okuketta ensi ye. 3 Bw’atyo kabaka oyo n’atumya ewa Lakabu nti, “Mu nju yo mulimu abasajja abazze okuketta ensi yange, bampeereze mangu.”
4 (B)Lakabu abasajja bano yali yamaze dda okubakweka, naye n’alyoka agamba nti, “Kituufu abasajja abo baabaddeko wano naye saategedde gye baabadde bava. 5 Oluggi lw’ekibuga bwe lwabadde lunaatera okuggalwawo akawungeezi, ne bafuluma, saategedde gye baalaze; naye mubawondere osanga munaabagwikiriza.” 6 (C)So nno yali yabakwese dda ku nju waggulu era nga ababisseeko bulungi ebikolokomba by’obugoogwa. 7 Basajja ba kabaka ne bafuluma ekibuga ne wankaaki waakyo naggalwawo. Ne banoonya abakessi okutuukira ddala ku mugga Yoludaani.
8 Abakessi bwe baali tebanneebaka, Lakabu n’ayambuka gye baali ku nju waggulu 9 (D)n’abagamba nti, “Nkimanyi nga Mukama abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu n’omwoyo. 10 (E)Twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka b’Abamoli emitala w’omugga Yoludaani. 11 (F)Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.” 12 (G)N’abagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya Mukama era mumpe n’obukakafu 13 nga mulitutaliza; nze, ne kitange, ne mmange, ne baganda bange, ne bannyinaze awamu n’abo bonna be babeera nabo.” 14 (H)Abasajja abo ne baddamu nti, “Bw’otolituloopa, naffe tulibawonya Mukama ng’atuwadde ensi eno; era Mukama atuzikirize bwe tutalikola bwe tutyo.”
15 (I)Olw’okubanga ennyumba ya Lakabu yazimbwa ku bbugwe w’ekibuga, bw’atyo n’abasizza ku muguwa ng’abayisa mu ddirisa. 16 (J)Yabagamba nti, “Mugende mwekwekere ennaku ssatu eyo mu nsozi okutuusa ng’ababawenja bamaze okudda, oluvannyuma muyinza okwetambulira amakubo gammwe.” 17 (K)Ne bamugamba nti, “Tujja kukuuma butiribiri ekirayiro kyaffe 18 (L)era bwe tulitabaala ensi yammwe, osibanga omuguwa guno omumyufu mu ddirisa mwe watuyisa era okuŋŋaanyizanga mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko, bannyoko n’ab’omu nnyumba ya kitaawo bonna. 19 (M)Gwe kalitanda n’afuluma mu nju yo n’atambulatambula mu nguudo, ekirimutuukako kyonna y’alimanya. Kyokka alituukibwako akabi konna mu nju yo, ogwo guliba musango gwaffe. 20 Naye k’olituloopa, olwo oliba omenye endagaano yaffe naawe.” 21 Lakabu y’abaddamu n’abagamba nti, “Byonna bibeere nga bwe tukkaanyizza.” Bwe yamala okubasiibula n’asiba akawero akamyufu mu ddirisa.
Abakessi Beddirayo Ewaabwe
22 Abakessi bwe baamala okwekwekera ennaku ssatu mu nsozi nga n’ababanoonya bababuliddwa, 23 ne beddirayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni ne bamuyitiramu mu byonna nga bwe byagenda. 24 (N)Ne bamugamba nti, “Ddala ensi eyo Mukama agituwadde, abantu baamu bonna tubakubye encukwe.”
Footnotes
- 2:1 Yeriko Kyali kibuga kya dda nnyo nga kiriko ebigo eby’amaanyi nga kiri kilomita munaana mu bugwanjuba bwa Yoludaani. Mwalimu emigga mingi nga kiriko ne bbugwe ow’amaanyi. Abatuuze baamu baasobolanga okwewanirira mu biseera eby’ekyeya okumala ebbanga ddene ddala. Noolwekyo kyali kifo kikulu nnyo awayingirwa mu Nsi Ensuubize.
The ESV® Bible (The Holy Bible, English Standard Version®), © 2001 by Crossway, a publishing ministry of Good News Publishers. ESV Text Edition: 2025.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
