John 6:32-51
New American Bible (Revised Edition)
32 So Jesus said to them, “Amen, amen, I say to you, it was not Moses who gave the bread from heaven; my Father gives you the true bread from heaven.(A) 33 For the bread of God is that which comes down from heaven and gives life to the world.”
34 (B)So they said to him, “Sir, give us this bread always.” 35 [a]Jesus said to them, “I am the bread of life; whoever comes to me will never hunger, and whoever believes in me will never thirst.(C) 36 But I told you that although you have seen [me], you do not believe.(D) 37 Everything that the Father gives me will come to me, and I will not reject anyone who comes to me, 38 because I came down from heaven not to do my own will but the will of the one who sent me.(E) 39 And this is the will of the one who sent me, that I should not lose anything of what he gave me, but that I should raise it [on] the last day.(F) 40 For this is the will of my Father, that everyone who sees the Son and believes in him may have eternal life, and I shall raise him [on] the last day.”(G)
41 The Jews murmured about him because he said, “I am the bread that came down from heaven,” 42 and they said, “Is this not Jesus, the son of Joseph? Do we not know his father and mother? Then how can he say, ‘I have come down from heaven’?”(H) 43 Jesus answered and said to them, “Stop murmuring[b] among yourselves.(I) 44 No one can come to me unless the Father who sent me draw him, and I will raise him on the last day. 45 It is written in the prophets:
‘They shall all be taught by God.’
Everyone who listens to my Father and learns from him comes to me.(J) 46 Not that anyone has seen the Father except the one who is from God; he has seen the Father.(K) 47 Amen, amen, I say to you, whoever believes has eternal life. 48 I am the bread of life. 49 Your ancestors ate the manna in the desert, but they died;(L) 50 this is the bread that comes down from heaven so that one may eat it and not die. 51 I am the living bread that came down from heaven; whoever eats this bread will live forever; and the bread that I will give is my flesh for the life of the world.”(M)
Read full chapterFootnotes
- 6:35–59 Up to Jn 6:50 “bread of life” is a figure for God’s revelation in Jesus; in Jn 6:51–58, the eucharistic theme comes to the fore. There may thus be a break between Jn 6:50–51.
- 6:43 Murmuring: the word may reflect the Greek of Ex 16:2, 7–8.
Yokaana 6:32-51
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 33 (A)Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”
34 (B)Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”
35 (C)Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta. 36 Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza. 37 (D)Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru. 38 (E)Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange. 39 (F)Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero. 40 (G)Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.”
Yesu y’Emmere ey’Obulamu
41 Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 42 (H)Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ”
43 Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya. 44 (I)Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 45 (J)Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi. 46 (K)Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe. 47 Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo! 48 (L)Nze mmere ey’obulamu. 49 (M)Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa. 50 (N)Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa. 51 (O)Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”
Read full chapterScripture texts, prefaces, introductions, footnotes and cross references used in this work are taken from the New American Bible, revised edition © 2010, 1991, 1986, 1970 Confraternity of Christian Doctrine, Inc., Washington, DC All Rights Reserved. No part of this work may be reproduced or transmitted in any form or by any means, electronic or mechanical, including photocopying, recording, or by any information storage and retrieval system, without permission in writing from the copyright owner.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.