Add parallel Print Page Options

(A)Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli. Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango, (B)kubanga tebanzikkiriza, 10 (C)olw’obutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba, 11 (D)n’olw’omusango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.

12 (E)“Nkyalina bingi eby’okubategeeza naye kaakano temusobola kubitegeera. 13 (F)Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo. 14 Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga. 15 (G)Byonna Kitange by’alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo Mutukuvu anaabategeezanga bye nnaamubuuliranga.

Read full chapter