Add parallel Print Page Options

20 Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso. 21 Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.” 22 (A)Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro. 23 (B)Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”

Read full chapter