Add parallel Print Page Options

(A)Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye. Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa.

Read full chapter