Yokaana 3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu ne Nikodemo
3 (A)Awo waaliwo omukulembeze w’Abayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo, 2 (B)n’ajja eri Yesu ekiro okwogera naye. N’amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga eby’amagero by’okola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”
3 (C)Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”
4 Nikodemo n’amuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw’aba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, n’azaalibwa?”
5 (D)Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’Omwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 6 (E)Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. 7 Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. 8 Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva newaakubadde gyegenda; bw’atyo bw’abeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo.”
9 (F)Nikodemo n’amubuuza nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?”
10 (G)Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe omuyigiriza wa Isirayiri, n’otomanya bintu bino? 11 (H)Ddala ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi, ne tutegeeza kye twalaba, so temukkiriza bujulirwa bwaffe. 12 Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira eby’ensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira eby’omu ggulu? 13 (I)Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana w’Omuntu. 14 (J)Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n’Omwana w’Omuntu kimugwanira okuwanikibwa, 15 (K)buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo.
16 (L)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. 17 (M)Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye. 18 (N)Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda. 19 (O)Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. 20 (P)Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. 21 Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”
Yesu ne Yokaana Omubatiza
22 (Q)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’abayigirizwa be ne bajja mu nsi y’e Buyudaaya, n’abeera eyo nabo, era n’abatiza. 23 Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ng’abantu bangi bajja okubatizibwa, 24 (R)olwo nga tannateekebwa mu kkomera. 25 (S)Ne wabaawo empaka wakati w’abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ku nsonga ey’okutukuzibwa. 26 (T)Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”
27 Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu. 28 (U)Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera. 29 (V)Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde. 30 Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.
31 (W)“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi. 32 (X)Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza. 33 Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima. 34 (Y)Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa. 35 (Z)Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe. 36 (AA)Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”
约翰福音 3
Chinese Union Version Modern Punctuation (Simplified)
耶稣与尼哥迪慕论重生
3 有一个法利赛人,名叫尼哥迪慕,是犹太人的官。 2 这人夜里来见耶稣,说:“拉比,我们知道你是由神那里来做师傅的,因为你所行的神迹,若没有神同在,无人能行。” 3 耶稣回答说:“我实实在在地告诉你:人若不重生,就不能见神的国。” 4 尼哥迪慕说:“人已经老了,如何能重生呢?岂能再进母腹生出来吗?” 5 耶稣说:“我实实在在地告诉你:人若不是从水和圣灵生的,就不能进神的国。 6 从肉身生的就是肉身,从灵生的就是灵。 7 我说你们必须重生,你不要以为稀奇。 8 风随着意思吹,你听见风的响声,却不晓得从哪里来,往哪里去。凡从圣灵生的,也是如此。” 9 尼哥迪慕问他说:“怎能有这事呢?” 10 耶稣回答说:“你是以色列人的先生,还不明白这事吗? 11 我实实在在地告诉你:我们所说的是我们知道的,我们所见证的是我们见过的,你们却不领受我们的见证。 12 我对你们说地上的事,你们尚且不信,若说天上的事,如何能信呢? 13 除了从天降下仍旧在天的人子,没有人升过天。 14 摩西在旷野怎样举蛇,人子也必照样被举起来, 15 叫一切信他的都得永生[a]。
神爱世人
16 “神爱世人,甚至将他的独生子赐给他们,叫一切信他的不致灭亡,反得永生。 17 因为神差他的儿子降世,不是要定世人的罪[b],乃是要叫世人因他得救。 18 信他的人不被定罪,不信的人罪已经定了,因为他不信神独生子的名。
作恶的恨光
19 “光来到世间,世人因自己的行为是恶的,不爱光倒爱黑暗,定他们的罪就是在此。 20 凡作恶的便恨光,并不来就光,恐怕他的行为受责备; 21 但行真理的必来就光,要显明他所行的是靠神而行。”
耶稣和约翰施洗
22 这事以后,耶稣和门徒到了犹太地,在那里居住,施洗。 23 约翰在靠近撒冷的哀嫩也施洗,因为那里水多,众人都去受洗。 24 那时约翰还没有下在监里。 25 约翰的门徒和一个犹太人辩论洁净的礼, 26 就来见约翰,说:“拉比,从前同你在约旦河外、你所见证的那位,现在施洗,众人都往他那里去了。” 27 约翰说:“若不是从天上赐的,人就不能得什么。 28 我曾说我不是基督,是奉差遣在他前面的,你们自己可以给我作见证。 29 娶新妇的就是新郎,新郎的朋友站着,听见新郎的声音就甚喜乐。故此,我这喜乐满足了。 30 他必兴旺,我必衰微。”
信者能得永生
31 从天上来的是在万有之上,从地上来的是属乎地,他所说的也是属乎地。从天上来的是在万有之上, 32 他将所见所闻的见证出来,只是没有人领受他的见证。 33 那领受他见证的,就印上印,证明神是真的。 34 神所差来的就说神的话,因为神赐圣灵给他是没有限量的。 35 父爱子,已将万有交在他手里。 36 信子的人有永生,不信子的人得不着永生[c],神的震怒常在他身上。
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Copyright © 2011 by Global Bible Initiative