Add parallel Print Page Options

Yobu Akolimira Olunaku kwe Yazaalirwa

Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. N’agamba nti,

(A)“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire,
    n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza,
    omusana guleme okulwakako,
    Katonda aleme okulufaako.
(B)Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule,
    ekire kirutuuleko,
    ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
(C)Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage,
    luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka,
    wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
Yee, lubeere lugumba,
    waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
(D)Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire,
    n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
(E)Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza,
    lulindirire ekitangaala kirubulwe,
    luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10 Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
    nneme okulaba obuyinike.

11 (F)“Lwaki saafa nga nzalibwa,
    oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12 (G)Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako
    era n’amabeere okugayonka?
13 (H)Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde,
    nandibadde neebase nga neewummulidde,
14 (I)wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi,
    abezimbira embiri kaakano amatongo,
15 (J)oba n’abalangira abaalina zaabu,
    abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16 (K)Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde,
    atalabye ku kitangaala?
17 (L)Eyo ababi gye batatawaanyizibwa,
    era n’abakooye gye bawummulira.
18 (M)Abasibe gye bawummulira awamu,
    gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19 Abakopi n’abakungu gye babeera;
    abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.

20 (N)“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala,
    ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21 (O)era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja,
    n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22 abajaguza ekisukkiridde,
    ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
23 (P)Lwaki okuwa ekitangaala oyo,
    atayinza kulaba kkubo,
    Katonda gw’akomedde?
24 (Q)Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya,
    n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
25 (R)Ekintu kye nantiiranga ddala
    era kye nakyawa kye kyantukako.
26 (S)Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe,
    wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”

Erifaazi Ayogera

Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti,

(T)“Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga?
    Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
(U)Laba, wayigiriza bangi,
    emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
(V)Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa,
    era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.
(W)Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi;
    kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
(X)Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo,
    n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo?

(Y)“Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde?
    Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?
(Z)Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
    bakungula bizibu.
(AA)Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa,
    bamalibwawo obusungu bwe.
10 (AB)Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe,
    n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11 (AC)Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo,
    n’obwana bw’empologoma busaasaana.

12 (AD)“Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama,
    ne nkitegera okutu.
13 (AE)Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro
    ng’otulo otungi tukutte omuntu,
14 (AF)okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15 Omwoyo gw’ayita mu maaso gange,
    obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira.
16 Ne buyimirira butengerera,
    naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo,
n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro,
    ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
17 (AG)‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
    Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
18 (AH)Obanga abaddu be tabeesiga,
    nga bamalayika be abalanga ensobi
19 (AI)kale kiriba kitya,
    abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu,
    ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo?
20 (AJ)Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi,
    bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
21 (AK)Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda,
    ne bafa ng’abasirusiru.’ ”
(AL)“Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba?
    Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira?
(AM)Obukyayi butta atalina magezi,
    n’obuggya butta omusirusiru.
(AN)Ndabye abasirusiru nga banywevu,
    naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu.
(AO)Abaana baabwe tebalina bukuumi,
    babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.
(AP)Omuyala alya amakungula gaabwe
    era atwala n’ag’omu maggwa
    era awankirawankira eby’obugagga byabwe.
Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi,
    wadde obuzibu okuva mu ttaka,
(AQ)wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku,
    ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.
(AR)Naye nze, nzija kunoonya Katonda
    era mmulekere ensonga zange.
(AS)Akola ebikulu, ebitanoonyezeka,
    ebyewuunyisa ebitabalika.
10 (AT)Atonnyesa enkuba ku nsi,
    n’aweereza amazzi mu byalo.
11 (AU)Ayimusa abo abanyigirizibwa
    n’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.
12 (AV)Aziyiza enkwe z’ababi,
    emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.
13 (AW)Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe,
    n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.
14 (AX)Ekizikiza kibabuutikira emisana,
    ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.
15 (AY)Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi,
    n’abawonya ekitala kyabwe.
16 (AZ)Abaavu ne balyoka baba n’essuubi,
    n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa.

17 (BA)“Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira;
    noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.
18 (BB)Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga,
    y’alumya era y’awonya.
19 (BC)Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga.
    Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.
20 (BD)Mu njala alikuwonya okufa,
    era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala.
21 (BE)Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe,
    era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.
22 (BF)Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze,
    era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi.
23 (BG)Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro,
    era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.
24 (BH)Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe;
    era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.
25     (BI)Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene,
    ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi.
26 (BJ)Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala,
    ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.

27 “Ekyo twakyekenneenya, kituufu.
    Kimanye nga kikwata ku ggwe.”

Yobu Ayanukula

Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,

(BK)“Singa okweraliikirira kwange,
    n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
(BL)Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
    ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
(BM)Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
    n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
    entiisa ya Katonda erwana nange.
Entulege ekaaba awali omuddo,
    oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
    oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
(BN)Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
    biri ng’emmere etangasa.

(BO)“Singa Katonda ampa kye nsaba,
    n’ampa kye nsuubira,
(BP)yandisiimye okumbetenta
    ne mmalibwawo omukono gwe.
10 (BQ)Kino kyandikkakkanyizza
    obulumi obutakoma
    kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11 (BR)Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
    Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12 Amaanyi gange ga mayinja
    oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 (BS)Mu mazima sirina maanyi
    n’obusobozi bwanzigwako.
14 Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe
    tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15 (BT)Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga
    ate ne kakalira,
16 akaddugalirira
    buli lwe kakwata, ng’omuzira,
17 (BU)ate ne kaggwaawo
    buli lwe wabaawo ebbugumu.
18 Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo
    ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19 (BV)Abatambuze b’e Teema banoonya,
    bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
20 (BW)Baalina essuubi
    naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21 (BX)Kaakano bwe mundabye ne mutya
    ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22 Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’
    oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
23 okumponya nve mu mukono gw’omulabe,
    n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’? 

24 (BY)“Njigiriza nange n’aba musirise;
    ndaga we nsobezza.
25 (BZ)Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi!
    Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26 (CA)Mugezaako okugolola ebigambo byange,
    ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
27 (CB)Mukubira ne bamulekwa akalulu
    ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.

28 (CC)“Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire.
    Ndabika ng’omulimba?
29 (CD)Mufumiitirize, temusuula bwenkanya;
    Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe.
30 (CE)Emimwa gyange girabika ng’egirimba?
    Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”