Yobu 33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
33 (A)“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:
ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.
2 Laba nnaatera okwasamya akamwa kange,
ebigambo byange bindi ku lulimi.
3 (B)Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu;
olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.
4 (C)Omwoyo wa Katonda ye yankola,
era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
5 (D)Onnyanukule nno bw’oba osobola,
teekateeka ebigambo byo onjolekere.
6 (E)Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda.
Nange nava mu bbumba.
7 (F)Tobaako ky’otya,
sijja kukunyigiriza.
8 Ddala ddala oyogedde mpulira,
ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,
9 (G)Ndi mulongoofu sirina kibi,
siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.
10 (H)Kyokka Katonda anteekako omusango,
anfudde omulabe we.
11 (I)Asiba ebigere byange mu nvuba,
antwala okuba omulabe we.
12 (J)“Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu.
Katonda asinga omuntu.
13 (K)Lwaki omwemulugunyiza nti,
taddamu bigambo bya muntu yenna?
14 (L)Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala,
wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.
15 (M)Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro
ng’otulo tungi tukutte abantu
nga beebase ku bitanda byabwe,
16 (N)aggula amatu g’abantu,
n’abalabula n’ebyekango,
17 alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi
n’amalala,
18 (O)aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya,
n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.
19 (P)“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,
n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20 (Q)obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,
emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21 (R)Omubiri gwe gugwako ku magumba,
n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22 (S)emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;
obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23 (T)Singa wabaawo malayika ku ludda lwe,
amuwolereza, omu ku lukumi,
okubuulira omuntu ekigwanidde;
24 (U)yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,
‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe,
mmusasulidde omutango,’
25 (V)omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,
era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26 (W)Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 (X)Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,
naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 (Y)Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.
29 (Z)“Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu
emirundi ebiri oba esatu,
30 (AA)okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe,
ekitangaala eky’obulamu kimwakire.
31 “Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize;
siriikirira nkubuulire.
32 Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu;
yogera kubanga njagala wejjeerere.
33 (AB)Bwe kitaba kityo, mpuliriza;
sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”
Job 33
King James Version
33 Wherefore, Job, I pray thee, hear my speeches, and hearken to all my words.
2 Behold, now I have opened my mouth, my tongue hath spoken in my mouth.
3 My words shall be of the uprightness of my heart: and my lips shall utter knowledge clearly.
4 The spirit of God hath made me, and the breath of the Almighty hath given me life.
5 If thou canst answer me, set thy words in order before me, stand up.
6 Behold, I am according to thy wish in God's stead: I also am formed out of the clay.
7 Behold, my terror shall not make thee afraid, neither shall my hand be heavy upon thee.
8 Surely thou hast spoken in mine hearing, and I have heard the voice of thy words, saying,
9 I am clean without transgression, I am innocent; neither is there iniquity in me.
10 Behold, he findeth occasions against me, he counteth me for his enemy,
11 He putteth my feet in the stocks, he marketh all my paths.
12 Behold, in this thou art not just: I will answer thee, that God is greater than man.
13 Why dost thou strive against him? for he giveth not account of any of his matters.
14 For God speaketh once, yea twice, yet man perceiveth it not.
15 In a dream, in a vision of the night, when deep sleep falleth upon men, in slumberings upon the bed;
16 Then he openeth the ears of men, and sealeth their instruction,
17 That he may withdraw man from his purpose, and hide pride from man.
18 He keepeth back his soul from the pit, and his life from perishing by the sword.
19 He is chastened also with pain upon his bed, and the multitude of his bones with strong pain:
20 So that his life abhorreth bread, and his soul dainty meat.
21 His flesh is consumed away, that it cannot be seen; and his bones that were not seen stick out.
22 Yea, his soul draweth near unto the grave, and his life to the destroyers.
23 If there be a messenger with him, an interpreter, one among a thousand, to shew unto man his uprightness:
24 Then he is gracious unto him, and saith, Deliver him from going down to the pit: I have found a ransom.
25 His flesh shall be fresher than a child's: he shall return to the days of his youth:
26 He shall pray unto God, and he will be favourable unto him: and he shall see his face with joy: for he will render unto man his righteousness.
27 He looketh upon men, and if any say, I have sinned, and perverted that which was right, and it profited me not;
28 He will deliver his soul from going into the pit, and his life shall see the light.
29 Lo, all these things worketh God oftentimes with man,
30 To bring back his soul from the pit, to be enlightened with the light of the living.
31 Mark well, O Job, hearken unto me: hold thy peace, and I will speak.
32 If thou hast anything to say, answer me: speak, for I desire to justify thee.
33 If not, hearken unto me: hold thy peace, and I shall teach thee wisdom.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.