Add parallel Print Page Options

(A)“Nga nneegomba emyezi egyayita,
    ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
(B)ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange,
    n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
(C)Mu biro we nabeerera ow’amaanyi,
    omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange
    n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
(D)n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo
    n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.

Read full chapter