Add parallel Print Page Options

Job Replies: God’s Majesty Is Unsearchable

26 Then Job answered:

‘How you have helped one who has no power!
    How you have assisted the arm that has no strength!
How you have counselled one who has no wisdom,
    and given much good advice!
With whose help have you uttered words,
    and whose spirit has come forth from you?
The shades below tremble,
    the waters and their inhabitants.
Sheol is naked before God,
    and Abaddon has no covering.
He stretches out Zaphon[a] over the void,
    and hangs the earth upon nothing.
He binds up the waters in his thick clouds,
    and the cloud is not torn open by them.
He covers the face of the full moon,
    and spreads over it his cloud.
10 He has described a circle on the face of the waters,
    at the boundary between light and darkness.
11 The pillars of heaven tremble,
    and are astounded at his rebuke.
12 By his power he stilled the Sea;
    by his understanding he struck down Rahab.
13 By his wind the heavens were made fair;
    his hand pierced the fleeing serpent.
14 These are indeed but the outskirts of his ways;
    and how small a whisper do we hear of him!
    But the thunder of his power who can understand?’

Footnotes

  1. Job 26:7 Or the north

Yobu Ayanukula

26 Awo Yobu n’addamu nti,

(A)“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
    Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
    Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
    Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?

(B)“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
    n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
(C)Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
    n’okuzikiriza tekulina kikubisse.
(D)Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
    awanika ensi awatali kigiwanirira.
(E)Asiba amazzi mu bire bye;
    ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
(F)Abikka obwenyi bw’omwezi,
    agwanjululizaako ebire bye.
10 (G)Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
    ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zikankana,
    zeewuunya olw’okunenya kwe.
12 (H)Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
    n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13 (I)Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
    omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 (J)Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.
    Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!
    Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”