Job 24
Dios Habla Hoy
24 ¿Por qué el Todopoderoso no señala fechas para actuar,
de modo que sus amigos puedan verlas?
2 Los malvados cambian los linderos de los campos,
roban ovejas para aumentar sus rebaños,
3 despojan de sus animales
a los huérfanos y las viudas.
4 Apartan a los pobres del camino,
y la gente humilde tiene que esconderse.
5 Los pobres, como asnos salvajes del desierto,
salen a buscar con trabajo su comida,
y del desierto sacan alimento para sus hijos.
6 Van a recoger espigas en campos ajenos
o a rebuscar en los viñedos de los malos.
7 Pasan la noche sin nada con que cubrirse,
sin nada que los proteja del frío.
8 La lluvia de las montañas los empapa,
y se abrazan a las rocas en busca de refugio.
9 Les quitan a las viudas sus recién nacidos,
y a los pobres les exigen prendas.
10 Los pobres andan casi desnudos,
cargando trigo mientras se mueren de hambre.
11 Mueven las piedras del molino para sacar aceite;
pisan las uvas para hacer vino,
y mientras tanto se mueren de sed.
12 Lejos de la ciudad, los que agonizan
lloran y lanzan gemidos,
pero Dios no escucha su oración.
13 Hay algunos que odian la luz,
y en todos sus caminos se apartan de ella.
14 El asesino madruga para matar al pobre,
y al anochecer se convierte en ladrón.
15 El adúltero espera a que oscurezca,
y se tapa bien la cara,
pensando: «Así nadie me ve.»
16 El ladrón se mete de noche en las casas.
Todos ellos se encierran de día;
son enemigos de la luz.
17 La luz del día es para ellos densa oscuridad;
prefieren los horrores de la noche.
Sofar
18 El malvado es arrastrado por el agua.
Sus tierras quedan bajo maldición
y nadie vuelve a trabajar en sus viñedos.
19 Con el calor de la sequía, la nieve se derrite;
y en el sepulcro, el pecador desaparece.
20 Su propia madre se olvidará de él;
los gusanos se lo comerán,
y nadie volverá a acordarse de él.
El malo caerá como un árbol cortado.
21 Con las mujeres sin hijos y con las viudas
fue siempre cruel; jamás las ayudó.
22 Pero Dios, con su fuerza, derriba a los poderosos;
cuando él actúa, nadie tiene segura la vida.
23 Dios los deja vivir confiados,
pero vigila cada uno de sus pasos.
24 Por un momento se levanta el malo,
pero pronto deja de existir.
Se marchita como hierba arrancada,
como espiga que se dobla.
25 Y si esto no es así, ¿quién podrá desmentirme
y probar que estoy equivocado?
Yobu 24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?
Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
2 (B)Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,
ne balunda ebisolo bye babbye.
3 (C)Batwala endogoyi ya mulekwa
ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
4 (D)Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
5 (E)Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere;
mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
6 Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
7 (F)Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;
tebalina kye beebikka mu mpewo.
8 (G)Enkuba y’oku nsozi ebatobya,
ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
9 (H)Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10 Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11 Basogolera emizabbibu ku mayinja,
ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12 (I)Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi.
Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.
13 (J)“Waliwo abo abajeemera omusana,
abatamanyi makubo ge,
abatasigala mu kwaka kwagwo.
14 (K)Omutemu agolokoka nga obudde buzibye
n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga;
ekiro abbira ddala.
15 (L)Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’
n’abikka ne ku maaso ge.
16 (M)Mu kizikiza mwe basimira amayumba,
kyokka emisana baba beggalidde.
Tebaagala kitangaala.
17 Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18 (N)Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi.
Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 (O)Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20 (P)Olubuto lunaamwerabiranga;
envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa.
Tajjukirwenga nate,
omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21 (Q)Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22 (R)Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23 (S)Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe
n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24 (T)Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna.
Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.
25 (U)“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,
n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”
Dios habla hoy ®, © Sociedades Bíblicas Unidas, 1966, 1970, 1979, 1983, 1996.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.