Yeremiya 10:6-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.
Oli mukulu,
era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
7 (B)Ani ataakutye,
Ayi Kabaka w’amawanga?
Kubanga kino kye kikugwanira.
Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga
ne mu bwakabaka bwabwe bwonna
tewali ali nga ggwe.
8 (C)Bonna tebalina magezi basirusiru,
abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
9 (D)Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,
ne zaabu eva e Yufazi,
ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze
byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.
Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
10 (E)Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,
era Kabaka ow’emirembe gyonna.
Bw’asunguwala, ensi ekankana,
amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu
11 (F)“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”
12 (G)Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,
n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,
era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.
13 (H)Bw’afulumya eddoboozi lye, amazzi agali mu bire gawuluguma,
asobozesa ebire okusituka nga biva ku nkomerero y’ensi.
Amyansisa eggulu mu nkuba,
era n’aggya empewo mu mawanika ge.
14 Buli muntu talina magezi era taliimu kutegeera;
buli muweesi wa zaabu aswala olw’ekifaananyi ky’akoze.
Kubanga ebifaananyi bye ebisaanuuse bulimba,
era tebiriimu bulamu.
15 (I)Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
ebirizikirizibwa nga Mukama azze okusala omusango.
16 (J)Oyo Katonda Omugabo gwa Yakobo tali ng’ebyo,
ye Mutonzi w’ebintu byonna,
era owa Isirayiri, eggwanga ery’omugabo gwe,
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.