Add parallel Print Page Options

20 (A)“Genda mu Lebanooni okaabe,
    leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani.
Kaabira ku Abalimu,
    kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
21 (B)Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga
    naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’
Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo,
    togonderanga ku ddoboozi lyange.
22 Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,
    n’abawagizi bo batwalibwe mu buwaŋŋanguse.
Olwo okwatibwe ensonyi
    oggweemu amaanyi olw’ebibi byo byonna.
23 (C)Mmwe abali mu Lebanooni,[a]
    abesulira mu bizimbe eby’emivule,
nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde!
    Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.

24 (D)“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama. 25 (E)“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya. 26 (F)Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira. 27 Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

28 (G)Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,
    ekimenyese, ekitaliiko ayagala?
Lwaki ye n’abaana be balikanyugibwa ebweru,
    basuulibwe mu nsi gye batamanyi?
29 (H)Ayi ggwe ensi, ensi,
    wulira ekigambo kya Katonda!
30 (I)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Omusajja ono mumubale ng’atazaalangako
    kubanga tewali ku baana be alikulaakulana,
alituula ku ntebe ya Dawudi
    oba aliddayo okufuga mu Yuda.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 22:23 lwe lubiri oluli mu Yerusaalemi