Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga bannoonya buli lunaku
    era beegomba okumanya amakubo gange,
nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu
    so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe.
Bambuuza ensala ennuŋŋamu,
    ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
(B)Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?
    Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?”
Musooke mulabe,
    ennaku ze musiiba
muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,
    musigala munyigiriza abakozi bammwe.

Read full chapter