Add parallel Print Page Options

Don’t fear

43 But now, says the Lord
the one who created you, Jacob,
    the one who formed you, Israel:
Don’t fear, for I have redeemed you;
    I have called you by name; you are mine.
When you pass through the waters, I will be with you;
    when through the rivers, they won’t sweep over you.
When you walk through the fire, you won’t be scorched
    and flame won’t burn you.
I am the Lord your God,
    the holy one of Israel, your savior.
I have given Egypt as your ransom,
    Cush and Seba in your place.
Because you are precious in my eyes,
    you are honored, and I love you.
    I give people in your place,
        and nations in exchange for your life.
Don’t fear,
    I am with you.
From the east I’ll bring your children;
    from the west I’ll gather you.
I’ll say to the north, “Give them back!”
    and to the south, “Don’t detain them.”
Bring my sons from far away,
    and my daughters from the end of the earth,
    everyone who is called by my name
    and whom I created for my glory,
    whom I have formed and made.

Bring out the blind people who have eyes,
    the deaf ones who have ears.
All the nations are gathered together;
    the peoples are assembled.
Which of them announced this?
    Who predicted to us the past events?
Let them bring their witnesses as a defense;
    let them hear and say, “It’s true!”
10 You are my witnesses, says the Lord,
    my servant, whom I chose,
    so that you would know and believe me
    and understand that I am the one.
Before me no god was formed;
    after me there has been no other.
11 I, I am the Lord,
    and there is no savior besides me.
12 I announced, I saved, I proclaimed,
not some stranger among you.
You are my witnesses, says the Lord,
    and I am God.
13 From the dawn of time, I am the one.
    No one can escape my power.
    I act, and who can undo it?

Don’t remember

14 The Lord your redeemer,
    the holy one of Israel, says,
For your sake, I have sent an army[a] to Babylon,
    and brought down all the bars,
    turning the Chaldeans’ singing into a lament.[b]
15 I am the Lord, your holy one,
    Israel’s creator, your king!
16 The Lord says—who makes a way in the sea
    and a path in the mighty waters,
17     who brings out chariot and horse,
    army and battalion;
    they will lie down together and will not rise;
    they will be extinguished, extinguished like a wick.
18 Don’t remember the prior things;
    don’t ponder ancient history.
19 Look! I’m doing a new thing;
    now it sprouts up; don’t you recognize it?
I’m making a way in the desert,
    paths[c] in the wilderness.
20 The beasts of the field,
        the jackals and ostriches, will honor me,
    because I have put water in the desert
    and streams in the wilderness
    to give water to my people,
    my chosen ones,
21     this people whom I formed for myself,
        who will recount my praise.

22 But you didn’t call out to me, Jacob;
    you were tired of me, Israel.
23 You didn’t bring me lambs for your entirely burned offering;
    you didn’t honor me with your sacrifices.
I didn’t make you worship with offerings;
    I didn’t weary you with frankincense.
24 You didn’t buy spices for me with your money,
    or satisfy me with the fat of your sacrifices.
Instead, you have burdened me with your sins
    and wearied me with your evil actions.
25 I, I am the one who wipes out your rebellious behavior for my sake. I won’t remember your sin.
26 Summon me, and let’s go to trial together;
    you tell your story so that you may be vindicated!
27 Your first ancestor sinned,
    and your officials rebelled against me.
28 So I made the holy officials impure,
    handed over Jacob to destruction and Israel to abuse.

Footnotes

  1. Isaiah 43:14 Heb lacks an army.
  2. Isaiah 43:14 Heb uncertain
  3. Isaiah 43:19 DSS (1QIsaa); MT streams

Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka

43 (A)Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda,
    ggwe Yakobo,
    eyakukola ggwe Isirayiri:
“Totya kubanga nkununudde,
    nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
(B)Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu
    nnaabeeranga naawe,
ne bw’onooyitanga mu migga
    tegirikusaanyaawo;
bw’onooyitanga mu muliro
    tegukwokyenga,
    ennimi z’omuliro tezirikwokya.
(C)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
    Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
    era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
(D)Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa,
    era kubanga nkwagala,
ndiwaayo abasajja ku lulwo
    mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
(E)Totya, kubanga nze ndi nawe,
    ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba
    era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
(F)Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
    n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
    ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
(G)Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
    gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
    gwe nakola gwe natonda.”

Eggwanga erirondeddwa nga Omujulirwa

(H)Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,
    abalina amatu naye nga tebawulira.
(I)Amawanga gonna ka gakuŋŋaane
    n’abantu bajje.
Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?
    Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?
Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu
    abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
10 (J)“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,
    “omuweereza wange gwe nalonda:
mulyoke mummanye, munzikirize,
    mutegeere nga Nze wuuyo:
Tewali Katonda eyansooka
    era teriba mulala alinzirira.
11 (K)Nze, Nze mwene, nze Mukama;
    okuggyako nze tewali Mulokozi.
12 (L)Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola;
    nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe.
Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.
13     (M)“Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo;
tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange.
    Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”
14 (N)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
    Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Ku lwammwe nditumya e Babulooni,
    ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe
    mu byombo ebyabeewanya.
15 Nze Mukama, Omutukuvu wammwe,
    Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”

16 (O)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
    oyo eyakola ekkubo mu nnyanja,
    n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo,
17 (P)eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba,
    byonna awamu okugwa omwo,
ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde,
    nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka:
18 “Mwerabire eby’emabega,
    so temulowooza ku by’ayita.
19 (Q)Laba, nkola ekintu ekiggya!
    Kaakano kitandise okulabika, temukiraba?
Nkola oluguudo mu ddungu
    ne ndeeta emigga mu lukoola.
20 (R)Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa,
    ebibe n’ebiwuugulu;
kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu,
    n’emigga mu lukoola,
okunywesa abantu bange, abalonde bange,
21     (S)abantu be nnekolera
    balangirire ettendo lyange.

22 (T)“So tonkowodde ggwe, Yakobo,
    era teweekooyeza ggwe Isirayiri.
23 (U)Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa,
    wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo.
Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke
    wadde okukukooya n’obubaane.
24 (V)Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo
    wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo,
naye onkoyesezza n’ebibi byo,
    era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.

25 (W)“Nze, Nze mwene,
    nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze,
    so sirijjukira bibi byo.
26 (X)Nzijukiza eby’edda, tuwoze ffembi,
    jjangu ensonga tuzoogereko fembi,
    yogera ebiraga nga toliiko musango.
27 (Y)Kitaawo eyasooka yasobya,
    abakulembeze bo baanjemera.
28 (Z)Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo,
    era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe
    ne Isirayiri aswazibwe.”