Add parallel Print Page Options

17 (A)Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go,
    n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya?
Komawo olw’obulungi bw’abaddu bo
    amawanga g’omugabo gwo.
18 (B)Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono,
    naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.
19 Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda;
    naye bo tobafuganga,
    tebayitibwanga linnya lyo.

Read full chapter