Add parallel Print Page Options

13 (A)Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba?
    Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
14 Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde,
    Omwoyo wa Mukama yabawummuza.
Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo
    okwekolera erinnya ery’ettendo.
15 (B)Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe,
    ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu.
Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa?
    Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.

Read full chapter