Add parallel Print Page Options

10 (A)Naye baajeema
    ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu,
kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabwe
    era ye kennyini n’abalwanyisa.

11 (B)Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda,
    ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be;
aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye.
    Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
12 (C)eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwa
    ogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo,
eyayawulamu amazzi nga balaba,
    yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?

Read full chapter