Add parallel Print Page Options

10 (A)Okakanyaze omutima gw’abantu bano,
    oggale amatu gaabwe,
    n’amaaso gazibe
si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe
    oba okuwulira n’amatu gaabwe
    oba okutegeera n’emitima gyabwe
ne bakyuka bawonyezebwe.”

Read full chapter

(A)Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newaakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu. (B)Oteekwa okubategeeza ebigambo byange, oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga bajeemu. (C)Naye ggwe omwana w’omuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ng’ennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.”

Read full chapter

15 (A)Kubanga omutima gw’abantu bano
    gwesibye,
    n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.
N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,
    wadde omutima gwabwe okutegeera,
ne bakyuka
    ne mbawonya.’

Read full chapter